Ab’oluganda baaniriza mwannyinaffe eyali aweddemu amaanyi

OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Apuli 2017

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Ennyanjula ze tuyinza okukozesa okugaba magazini ya Zuukuka! n’okuyigiriza amazima agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Kozesa ebyokulabirako ebyo okutegeka ennyanjula zo.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Kkiriza Yakuwa Akubumbe

Omubumbi Okukulu atubumba mu by’omwoyo, naye naffe tulina okubaako kye tukolawo.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Baanirize n’Essanyu

Buli muntu ajja mu nkuŋŋaana zaffe asaanidde okukiraba nti tulina okwagala okwa nnamaddala. Kiki ky’oyinza okukola okulaba nti wabaawo essanyu ku Kizimbe ky’Obwakabaka?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Olina ‘Omutima Ogumanyi’ Yakuwa?

Mu Yeremiya essuula 24, Yakuwa Katonda yageraageranya abantu ku mitiini. Baani abaali ng’emitiini emirungi, era tuyinza tutya okubakoppa?

LIVING AS CHRISTIANS

Abo Abaggwaamu Amaanyi Bazzeemu Amaanyi

Omuntu bw’aggwaamu amaanyi mu by’omwoyo, asigala wa muwendo eri Yakuwa Katonda. Tusobola tutya okuyamba abali ng’abo okukomawo mu kibiina?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Beera Muvumu nga Yeremiya

Yeremiya yamala emyaka 40 ng’alangirira nti Yerusaalemi kyali kigenda kuzikirizibwa. Kiki ekyamuyamba okweyongera okulangirira obubaka obwo n’omuvumu?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Ennyimba z’Obwakabaka Zituzzaamu Amaanyi

Okuyimba ennyimba z’Obwakabaka kyazzamu amaanyi Abakristaayo abaali mu nkambi y’abasibe ey’e Sachsenhausen. Ennyimba ezo zisobola okutuzzaamu amaanyi nga tuli mu mbeera enzibu.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Yakuwa Yali Yayogera Dda ku Ndagaano Empya

Njawulo ki eriwo wakati w’endagaano empya n’endagaano y’Amateeka, era lwaki emiganyulo gyayo gya lubeerera?