Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Abo Abaggwaamu Amaanyi Bazzeemu Amaanyi

Abo Abaggwaamu Amaanyi Bazzeemu Amaanyi

Ku Lwokubiri nga Apuli 11, baganda baffe ne bannyinaffe abaggwaamu amaanyi mu by’omwoyo bajja kujja ku mukolo gw’Ekijjukizo. Baali batandise okudduka embiro z’obulamu naye ne baggwaamu amaanyi olw’ensonga ezitali zimu, era ezimu ku nsonga ezo zoogerwako mu brocuwa Komawo eri Yakuwa. (Beb 12:1) Abo abaggwaamu amaanyi bakyali ba muwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa eyabagula n’omusaayi gw’Omwana we. (Bik 20:28; 1Pe 1:18, 19) Tuyinza tutya okubayamba okukomawo mu kibiina?

Abakadde mu kibiina bafuba nnyo okunoonya abalinga abo ng’omusumba bw’afuba ennyo okunoonya endiga ebuze. (Luk 15:4-7) Kino kyoleka okwagala kwa Yakuwa. (Yer 23:3, 4) Okuzzaamu abantu ng’abo amaanyi si buvunaanyizibwa bwa bakadde bokka. Ffenna bwe tufuba okubayamba kisanyusa nnyo Yakuwa, era ajja kutuwa emikisa. (Nge 19:17; Bik 20:35) N’olwekyo, lowooza ku muntu gw’osobola okuzzaamu amaanyi, era okikole awatali kulwa.

MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE OKUZZAAMU AMAANYI ABO ABAGGWAAMU AMAANYI, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE BIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:

  • Kiki Abbey kye yakolawo bwe yasanga Omujulirwa wa Yakuwa gwe yali tamanyi?

  • Bwe tuba twagala okuyamba omuntu eyaggwaamu amaanyi mu by’omwoyo, lwaki twandisoose kutegeeza bakadde?

  • Abbey yeeteekateeka atya ng’agenda okukyalira Laura omulundi ogw’okubiri?

  • Abbey yayoleka atya obugumiikiriza n’okwagala ng’agezaako okuyamba Laura?

  • Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Yesu ekiri mu Lukka 15:8-10?

  • Ab’oluganda bwe baakolera awamu okuyamba Laura, birungi ki ebyavaamu?