Apuli 17-23
YEREMIYA 25-28
Oluyimba 137 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Beera Muvumu nga Yeremiya”: (Ddak. 10)
Yer 26:2-6
—Yakuwa yalagira Yeremiya okulabula Abayisirayiri (w10 1/1 24 ¶6) Yer 26:8, 9, 12, 13
—Yeremiya teyaggwaamu maanyi wadde ng’abalabe be baamutiisatiisa (jr-E 21 ¶13) Yer 26:16, 24
—Yeremiya yayoleka obuvumu, era Yakuwa yamuyamba (w10 1/1 25 ¶1)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Yer 27:2, 3
—Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaleetera ababaka okuva mu mawanga ag’enjawulo okugenda e Yerusaalemi, era lwaki Yeremiya yabakolera ebikoligo? (jr-E 27 ¶21) Yer 28:11
—Yeremiya yeeyisa atya mu ngeri ey’amagezi nga Kananiya amuwakanya, era kiki kye tuyinza okumuyigirako? (jr-E 187-188 ¶11-12) Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Yer 27:12-22
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Oluyimba 17
“Ennyimba z’Obwakabaka Zituzzaamu Amaanyi”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Oluyimba Olwazzaamu Abasibe Amaanyi.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lv sul. 10 ¶9-15, akas. ku lup. 114
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 48 n’Okusaba