Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YEREMIYA 25-28

Beera Muvumu nga Yeremiya

Beera Muvumu nga Yeremiya

Yeremiya yalabula nti ekibuga Yerusaalemi kyali kigenda kuzikirizibwa kibe nga Siiro

26:6

  • Ssanduuko y’endagaano eyakiikiriranga okubeerawo kwa Yakuwa, yabeerako mu Siiro

  • Yakuwa yaleka Abafirisuuti ne bawamba essanduuko y’endagaano era teyazzibwayo e Siiro

Bakabona, bannabbi, n’abantu bonna, baatiisatiisa okutta Yeremiya

26:8, 9, 12, 13

  • Abantu baakwata Yeremiya olw’okulagula nti Yerusaalemi ne yeekaalu byali bigenda kuzikirizibwa

  • Yeremiya teyadduka era teyalekulira

Yakuwa yakuuma Yeremiya

26:16, 24

  • Yeremiya teyaggwaamu maanyi, era Yakuwa teyamwabulira

  • Yakuwa yakozesa Akikamu okuyamba Yeremiya

Yakuwa yayamba Yeremiya n’asobola okulangirira obubaka abantu bwe baali bataagala kuwulira, okumala emyaka 40