OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ennyimba z’Obwakabaka Zituzzaamu Amaanyi
Pawulo ne Siira baayimba ennyimba ezitendereza Katonda nga bali mu kkomera. (Bik 16:25) Ate era, bakkiriza bannaffe baayimba ennyimba z’Obwakabaka nga bali mu kkomera mu Sachsenhausen mu Bugirimaani mu kiseera ky’Abanazi ne mu Siberia. Ebyokulabirako ebyo biraga nti ennyimba zisobola okutuzzaamu amaanyi nga tuli mu mbeera enzibu.
Akatabo k’ennyimba akapya akalina omutwe Muyimbire Yakuwa n’Essanyu kanaatera okufulumizibwa mu nnimi endala nnyingi. Bwe tunaaba tufunye obutabo bw’ennyimba obupya, tusaanidde okuzeegezaamu mu kusinza kw’amaka tusobole okuzikwata. (Bef 5:19) Bwe tunaakola bwe tutyo, omwoyo omutukuvu gujja kutuyamba okuzijjukira nga tuli mu mbeera enzibu. Ennyimba z’Obwakabaka zisobola okutuyamba okussa ebirowoozo byaffe ku ssuubi lye tulina, era zisobola okutuzzaamu amaanyi. Ate era bwe tuba abasanyufu, ennyimba ezo tusobola ‘okuziyimba n’essanyu’ ne zongera okutuzzaamu amaanyi. (1By 15:16; Zb 33:1-3) Ka ffenna tufube okuyiga ennyimba z’Obwakabaka!
MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, OLUYIMBA OLWAZZAAMU ABASIBE AMAANYI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Kiki ekyaleetera ow’Oluganda Frost okuyiiya oluyimba?
-
Ab’oluganda abaali mu kkomera mu Sachsenhausen oluyimba olwo lwabazzaamu lutya amaanyi?
-
Ddi ennyimba z’Obwakabaka lwe zisobola okukuzzaamu amaanyi?
-
Nnyimba ki ez’Obwakabaka ze wandyagadde okukwata?