Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Apuli 24-30

YEREMIYA 29-31

Apuli 24-30
  • Oluyimba 151 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Yakuwa Yali Yayogera Dda ku Ndagaano Empya”: (Ddak. 10)

    • Yer 31:31—Endagaano empya yayogerwako ng’ebula ebyasa bingi (it-1-E 524 ¶3-4)

    • Yer 31:32, 33—Endagaano empya ya njawulo ku ndagaano y’Amateeka (jr-E 173-174 ¶11-12)

    • Yer 31:34—Endagaano empya esobozesa ebibi byaffe okusonyiyibwa (jr-E 177 ¶18)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Yer 29:4, 7—Lwaki Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse baalagirwa ‘okukolerera emirembe’ gya Babulooni, era omusingi guno tuyinza tutya okugukozesa mu bulamu bwaffe? (w96-E 5/1 11 ¶5)

    • Yer 29:10—Olunyiriri luno lulaga lutya nti obunnabbi obuli mu Bayibuli butuufu? (g-E 6/12 14 ¶1-2)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?

    • Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Yer 31:31-40

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Mat 6:10—Yigiriza Amazima.

  • Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) Is 9:6, 7; Kub 16:14-16—Yigiriza Amazima.

  • Okwogera: (Ddak. 6 oba obutawera) w14 12/15 21—Omutwe: Kiki Yeremiya kye yali ategeeza bwe yagamba nti Laakeeri yali akaabira abaana be?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 154

  • Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana Olunene: (Ddak. 15) Kwogera. Yogera ku nsonga ezituukirawo eziri mu vidiyo erina omutwe, “Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana Olunene” ne mu kitundu ekikwata ku kaweefube ow’okuyita abantu ku lukuŋŋaana olunene ekyali mu katabo Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe aka Apuli 2016 Mulabe vidiyo, Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana Olunene. Kubiriza abazadde okuwandiika ennamba zaabwe ez’essimu emabega wa bbaagi z’abaana baabwe abato. Ekyo kijja kuyamba abaaniriza abagenyi okufuna abazadde abo ng’abaana baabwe babuze. Yogera mu ngeri eneereetera abawuliriza okwesunga olukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu olwa 2017.

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lv sul. 10 ¶16-24

  • Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)

  • Oluyimba 37 n’Okusaba