Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Baanirize n’Essanyu

Baanirize n’Essanyu

Kwaniriza baani? Abo ababa bazze mu nkuŋŋaana zaffe; ka babe bapya oba abo be tumanyi. (Bar 15:7; Beb 13:2) Ayinza okuba mukkiriza munnaffe okuva mu nsi endala oba oyo abadde amaze ekiseera nga tajja mu nkuŋŋaana. Teeberezaamu singa obadde ggwe, tewandyagadde bakwanirize n’essanyu? (Mat 7:12) N’olwekyo, ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde, fuba okubuuza abo abazze mu nkuŋŋaana. Kino kinyweza enkolagana ebaawo mu kibiina era kiweesa Yakuwa ekitiibwa. (Mat 5:16) Kyo kituufu nti kiyinza okuba ekizibu okubuuza buli omu. Naye ffenna bwe tufuba, abo ababa bazze mu nkuŋŋaana bajja kukiraba nti tubafuddeko. *

Ku buli lukuŋŋaana tusaanidde okufaayo ku abo ababa bazze mu nkuŋŋaana, so si kubafaako ku Kijjukizo kwokka oba ku nkuŋŋaana ennene. Abapya bwe balaba okwagala okuliwo mu kibiina, bayinza okukwatibwako ne batandika okusinza Yakuwa.Yok 13:35.

^ lup. 3 Bayibuli eraga nti tetusaanidde kubuuza abo abaagobebwa mu kibiina oba abeeyawula ku kibiina, ka babe nga bazze mu nkuŋŋaana.1Ko 5:11; 2Yo 10.