OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Apuli 2018
Bye Tuyinza Okwogerako
Eby’okwogerako ebikwata ku Bayibuli n’engeri y’okufuna essanyu mu bulamu.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Okuyitako n’Ekijjukizo—Bye Bifaanaganya ne Bye Bitafaanaganya
Wadde ng’Embaga y’Okuyitako yali tesonga ku Kijjukizo, ebintu ebimu ebyakolebwanga ku mbaga eyo bitukwatako.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Mugende Mufuule Abantu Abayigirizwa—Lwaki, Tubasange Wa, era Tukikole Tutya?
Okufuula abantu abayigirizwa kitegeeza okubayigiriza ebintu byonna Yesu bye yalagira. Okufuula abantu abayigirizwa kizingiramu okuyigiriza abayizi byaffe okukolera ku ebyo Yesu bye yayigiriza n’okugoberera ekyokulabirako kye.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okubuulira n’Okuyigiriza Bikulu Nnyo mu Kufuula Abantu Abayigirizwa
Yesu yalagira abagoberezi be okufuula abantu abayigirizwa. Ekyo kizingiramu ki? Tuyinza tutya okuyamba abantu okukulaakulana mu by’omwoyo?
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Osonyiyiddwa Ebibi Byo”
Biki bye tuyigira ku kyamagero Yesu kye yakola ekiri mu Makko 2:5-12? Biyinza bitya okutugumya nga tuli balwadde?
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Okuwonya ku Ssabbiiti
Lwaki endowooza Abafalisaayo gye baalina yanakuwaza Yesu? Bibuuzo ki ebiyinza okutuyamba okulaba obanga naffe tuli ba kisa nga Yesu?
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yesu Asobola Okuzuukiza Abantu Baffe Abaafa
Bwe tufumiitiriza ku kuzuukira okwogerwako mu Bayibuli, okukkiriza kwe tulina mu kuzuukira kweyongera okunywera.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Kozesa Bulungi Ebyo bye Tukozesa Okuyigiriza Abantu Bayibuli
Okusobola okuyigiriza obulungi, tulina okuyiga engeri y’okukozesa ebintu bye tukozesa. Kiki ekisinga obukulu mu bye tukozesa okuyigiriza? Tuyinza tutya okulongoosa mu ngeri gye tubikozesaamu?