OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Kozesa Bulungi Ebyo bye Tukozesa Okuyigiriza Abantu Bayibuli
Okufuula omuntu omuyigirizwa kulinga okuzimba ennyumba. Okusobola okuzimba obulungi, twetaaga okukozesa obulungi ebizimbisibwa. Okusingira ddala, twetaaga okuyiga okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda. (2Ti 2:15) Ate era twetaaga okukozesa obulungi ebitabo ebirala ne vidiyo bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli, nga tulina ekigendererwa eky’okubafuula abayigirizwa. *
Oyinza otya okukozesa obulungi ebyo bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli? (1) Saba omulabirizi w’ekibinja kyo eky’obuweereza akuyambe, (2) Kolako n’omubuulizi alina obumanyirivu oba payoniya, era (3) weegezengamu nga tonnagenda mu buweereza. Bw’oneeyongera okukuguka mu kukozesa obulungi ebitabo ne vidiyo, ojja kufuna essanyu eriva mu kwenyigira mu kuzimba okw’eby’omwoyo okukolebwa kati.
MAGAZINI
BROCUWA
EBITABO
TULAKITI
VIDIYO
OBUPAPULA
KAADI
^ lup. 3 Waliwo n’ebitabo ebyategekerwa abantu abamu bye tusobola okukozesa bwe kiba nga kyetaagisiza.