Apuli 16-22
MAKKO 1-2
Oluyimba 130 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Osonyiyiddwa Ebibi Byo”: (Ddak. 10)
[Mulabe vidiyo, Ennyanjula y’Ekitabo kya Makko.]
Mak 2:3-5—Yesu yakwatirwa omusajja eyasannyalala ekisa, n’amusonyiwa ebibi bye (jy lup. 67 ¶3-5)
Mak 2:6-12—Yesu yalaga nti alina obuyinza okusonyiwa ebibi bwe yawonya omusajja eyasannyalala (“Kiki ekisinga obwangu“ awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 2:9, nwtsty)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Mak 1:11—Ebigambo Yakuwa bye yagamba Yesu ebiri mu lunyiriri luno birina makulu ki? (“eddoboozi ne liva mu ggulu,“ “Ggwe Mwana wange,“ “nkusanyukira“ awannyonnyolerwa ebiriri mu Mak 1:11, nwtsty)
Mak 2:27, 28—Lwaki Yesu yagamba nti ye “Mukama wa Ssabbiiti”? (“Mukama wa Ssabbiiti“ awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 2:28, nwtsty)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Mak 1:1-15
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Tandika n’ebyo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe.
Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebyo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako.
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Sajja Kuyita Batuukirivu Wabula Aboonoonyi”: (Ddak. 7) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo erina omutwe, Nnava mu Kkomera ne Nfuuka Omuntu ow’Omugaso. Oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino: Kiki ekyayamba Donald okufuna essanyu erya nnamaddala? Tuyinza tutya okukoppa Yesu nga tubuulira?—Mak 2:17.
Yakuwa ‘Asonyiyira Ddala’: (Ddak. 8) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo erina omutwe, Yakuwa, Nja Kukukulembeza mu Bulamu Bwange. Oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino: Kiki ekyayamba Anneliese okudda eri Yakuwa? (Is 55:6, 7) Oyinza otya okukozesa ekyokulabirako kye okuyamba abo abavudde ku Yakuwa?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 17
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 86 n’Okusaba