Apuli 23-29
MAKKO 3-4
Oluyimba 77 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Okuwonya ku Ssabbiiti”: (Ddak. 10)
Mak 3:1, 2—Abafalisaayo baali banoonya eky’okwekwasa basobole okuvunaana Yesu (jy lup. 78 ¶1-2)
Mak 3:3, 4—Yesu yali akimanyi nti etteeka lya Ssabbiiti baali balyongeddemu obulombolombo bwabwe (jy lup. 78 ¶3)
Mak 3:5—Yesu ‘yanakuwala nnyo olw’emitima gyabwe emikakanyavu’ (“nga munyiivu era nga munakuwavu nnyo“ awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 3:5, nwtsty)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Mak 3:29—Kitegeeza ki okuvvoola omwoyo omutukuvu, era biki ebivaamu? (“avvoola omwoyo omutukuvu,“ “aba n’ekibi emirembe n’emirembe“ awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 3:29, nwtsty)
Mak 4:26-29—Biki bye tuyiga mu lugero lwa Yesu olukwata ku musizi eyeebaka? (w14 12/15 lup. 12-13 ¶6-8)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Mak 3:1-19a
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebyo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako.
Okuddiŋŋana okw’Okusatu: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ekyawandiikibwa kye weerondedde, era omuwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli.
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) bhs lup. 36 ¶21-22—Laga engeri y’okutuuka ku mutima gw’omuyizi.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Oyo Alina Amatu ag’Okuwulira, Awulire”: (Ddak. 15) Nnyonnyola amakulu g’ebyo ebiri mu Makko 4:9 (nwtsty, awannyonnyolerwa ebyawandiikibwa). Mulabe vidiyo erina omutwe, Kkiriza Okubuulirirwa Obeere wa Magezi. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri mu kasanduuko akalina omutwe, “Wulirizanga Okubuulirirwa era Okkirizenga Okukangavvulwa“ mu katabo “Mwekuumire mu Kwagala kwa Katonda,” olupapula 46-47.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 18
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 123 n’Okusaba