Apuli 1-7
1 ABAKKOLINSO 7-9
Oluyimba 136 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Okubeera Obwannamunigina—Kirabo”: (Ddak. 10)
1Ko 7:32—Abakristaayo abatali bafumbo basobola okwemalira ku kuweereza Yakuwa olw’okuba tebaba na buvunaanyizibwa bungi ng’abafumbo (w11 1/15 lup. 17-18 ¶3)
1Ko 7:33, 34—Abakristaayo abafumbo ‘beeraliikirira bintu bya nsi’ (w08 7/15 lup. 27 ¶1)
1Ko 7:37, 38—Abakristaayo abasigala nga si bafumbo olw’okuba baagala okugaziya ku buweereza bwabwe eri Yakuwa, ‘basingako’ Abakristaayo abafumbo (w96-E 10/15 lup. 12-13 ¶14)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
1Ko 7:11—Nsonga ki Omukristaayo omufumbo z’ayinza okusinziirako okwawukana ne munne? (lvs lup. 250-251)
1Ko 7:36—Lwaki Abakristaayo bandiyingidde obufumbo nga bamaze “okuyita mu kiseera ekya kabuvubuka”? (w00-E 7/15 lup. 31 ¶2)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) 1Ko 8:1-13 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza: (Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo Okwanjula Ebyawandiikibwa, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku ssomo 4 erya brocuwa Okuyigiriza.
Okwogera: (Ddak. 5 oba obutawera) w12 11/15 lup. 20—Omutwe: Abo Abalina Ekirabo eky’Okusigala nga Si Bafumbo Beesanga Bwesanzi nga Balina Ekirabo Ekyo? (th essomo 12)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Kozesa Bulungi Ekirabo Kyo eky’Obwannamunigina: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo, oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino: Kusomoozebwa ki Abakristaayo bangi abali obwannamunigina kwe bafuna? (1Ko 7:39) Muwala wa Yefusa yassaawo kyakulabirako ki ekirungi? Mikisa ki Yakuwa gy’awa abo abatambulira mu bugolokofu? (Zb 84:11) Ab’oluganda mu kibiina bayinza batya okuzzaamu amaanyi abo abali obwannamunigina? Buweereza ki abo abali obwannamunigina bwe basobola okwenyigiramu?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 61
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 42 n’Okusaba