OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Luubirira Obuyigirize Obuva eri Katonda
LWAKI KIKULU: Yakuwa, Omuyigiriza Asingiridde, atuwa obuyigirize obusingayo obulungi. Atuyigiriza engeri y’okuba n’obulamu obulungi kati ne mu biseera eby’omu maaso, era obuyigirize obwo tetubusasulira! (Is 11:6-9; 30:20, 21; Kub 22:17) Okuyitira mu buyigirize obwo, Yakuwa atutendeka ne tusobola okubuulira abalala obubaka obujja okubasobozesa okuwonawo.—2Ko 3:5.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
-
Beera muwombeefu.—Zb 25:8, 9
-
Kkiriza okutendekebwa kw’ofuna kati, gamba ng’okukola ku bitundu ebiba bikuweereddwa mu lukuŋŋaana olwa wakati mu wiiki
-
Weeteerewo ebiruubirirwa eby’omwoyo.—Baf 3:13
-
Baako bye weefiiriza osobole okufuna okutendekebwa okusingako.—Baf 3:8
MULABE VIDIYO, EMIKISA EGIVA MU KUTENDEKEBWA YAKUWA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Kusomoozebwa ki ababuulizi abamu kwe balina okuvvuunuka okusobola okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka?
-
Kutendekebwa ki abagenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka kwe bafuna?
-
Ab’oluganda mu kibiina bayamba batya ababuulizi abavudde mu ssomero eryo, ababa baweerezeddwa mu kibiina kyabwe?
-
Bisaanyizo ki omubuulizi by’alina okutuukiriza okusobola okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka? (kr-E lup. 189)
-
Kutendekebwa ki okulala okuli mu kibiina kya Yakuwa kw’osobola okuluubirira?