Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Apuli 8-​14

1 ABAKKOLINSO 10-13

Apuli 8-​14
  • Oluyimba 30 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Yakuwa Mwesigwa”: (Ddak. 10)

    • 1Ko 10:13​—Yakuwa si y’asalawo ebizibu bye tunaafuna (w17.02 lup. 29-30)

    • 1Ko 10:13​—Ebizibu bye tufuna by’ebyo ‘ebituuka ku bantu bonna’

    • 1Ko 10:13​—Bwe twesiga Yakuwa, ajja kutuyamba okugumira ebizibu

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • 1Ko 10:8​—Lwaki olunyiriri luno lugamba nti Abayisirayiri 23,000 be baafa olw’okwenyigira mu bugwenyufu, ate nga Okubala 25:9 wagamba nti 24,000 be baafa? (w04-E 4/1 lup. 29)

    • 1Ko 11:5, 6, 10​—Omubuulizi omukazi bw’aba alina omuntu gw’ayigiriza Bayibuli nga waliwo omubuulizi omusajja, aba alina okubikka ku mutwe? (w15 2/15 lup. 30)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?

    • Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) 1Ko 10:1-17 (th essomo 5)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.

  • Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 1)

  • Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera ) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kukuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa. (th essomo 3)

  • Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. (th essomo 6)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO