Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oneeteekerateekera Otya Omukolo gw’Ekijjukizo?

Oneeteekerateekera Otya Omukolo gw’Ekijjukizo?

Okutandika n’omwaka guno, tujja kuba n’obudde obuwerako obw’okweteekerateekera omukolo gw’okujjukira okufa kwa Kristo. Omukolo gw’Ekijjukizo bwe gunaabangawo wakati mu wiiki, olukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo terujja kubangawo mu wiiki eyo. Ate bwe gunaabangawo ku wiikendi, tewajja kubangawo kwogera kwa bonna n’okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Onookozesa bulungi obudde obwo bwe tufunye? Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, waliwo enteekateeka ze tulina okukola okusobola okweteekerateekera omukolo ogwo omukulu ennyo. (Luk 22:7-13; km 3/15 lup. 1) Ffenna tusaanidde okuteekateeka emitima gyaffe. Ekyo tuyinza kukikola tutya?

  • Fumiitiriza ku nsonga lwaki kikulu okubaawo ku mukolo ogwo.​—1Ko 11:23-26

  • Saba era weekebere olabe enkolagana yo ne Yakuwa bw’eri.​—1Ko 11:27-29; 2Ko 13:5

  • Soma ebitabo ebinnyonnyola amakulu g’omukolo gw’Ekijjukizo era ofumiitirize ku ebyo by’osomye.​—Yok 3:16; 15:13

Abamu basoma era ne bafumiitiriza ku byawandiikibwa ebituweebwa okusoma mu kiseera ky’Ekijjukizo, ebiri mu katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku. Abalala basoma ebyawandiikibwa ebiragiddwa ku kipande ekyo wammanga. Ate abalala basoma ebitundu ebyafulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ebyogera ku mukolo gw’Ekijjukizo ne ku kwagala Yakuwa ne Yesu kwe baatulaga. K’obe ng’osazeewo kugoberera nteekateeka ki, kyonna ky’onooba osomye ka kikuyambe okweyongera okusemberera Yakuwa n’Omwana we.