Apuli 6-12
Olwokubiri, Apuli 7, 2020—Okujjukira Okufa kwa Yesu
Buli mwaka, mu kiseera ky’Ekijjukizo, Abakristaayo bafumiitiriza ku kwagala Yakuwa Katonda n’Omwana we Yesu Kristo kwe baatulaga. (Yok 3:16; 15:13) Osobola okukozesa ekipande kino wammanga, okusoma ebyawandiikibwa ebikwata ku buweereza bwa Yesu obwasembayo mu Yerusaalemi. Ebintu ebyo binnyonnyolwa mu kitundu 6 eky’ekitabo, Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu. Okwatibwako otya bw’olowooza ku kwagala Katonda ne Yesu kwe baakulaga?—2Ko 5:14, 15; 1Yo 4:16, 19.
OBUWEEREZA BWA YESU OBWASEMBAYO MU YERUSAALEMI
Ekiseera |
Ekifo |
Ebyaliwo |
Matayo |
Makko |
Lukka |
Yokaana |
---|---|---|---|---|---|---|
33, Nisaani 8 (Apuli 1-2, 2020) |
Bessaniya |
Yesu atuuka ng’ebula ennaku mukaaga embaga ey’Okuyitako etuuke |
|
|
|
|
Nisaani 9 (Apuli 2-3, 2020) |
Bessaniya |
Maliyamu amufukako amafuta ku mutwe ne ku bigere |
|
|||
Bessaniya-Besufaage-Yerusaalemi |
Ayingira Yerusaalemi mu kitiibwa, nga yeebagadde endogoyi |
|||||
Nisaani 10 (Apuli 3-4, 2020) |
Bessaniya-Yerusaalemi |
Akolimira omutiini; addamu okulongoosa yeekaalu |
|
|||
Yerusaalemi |
Bakabona abakulu n’abawandiisi bakola olukwe okutta Yesu |
|
|
|||
Yakuwa ayogera; Yesu ayogera ku kufa kwe; Obutakkiriza bw’Abayudaaya butuukiriza obunnabbi bwa Isaaya |
|
|
|
|||
Nisaani 11 (Apuli 4-5, 2020) |
Bessaniya-Yerusaalemi |
Eky’okuyiga ekikwata ku mutiini ogwakala |
|
|
||
Yerusaalemi, yeekaalu |
Abuuzibwa gy’aggya obuyinza; olugero lw’abaana ababiri |
|
||||
Engero: abalimi abatemu, embaga y’obugole |
|
|||||
Addamu ebibuuzo ebikwata ku Katonda ne Kayisaali, ku kuzuukira, ne ku tteeka erisingayo obukulu |
|
|||||
Abuuza obanga Kristo mwana wa Dawudi |
|
|||||
Agamba nti zisanze Abawandiisi n’Abafalisaayo |
|
|||||
Yeetegereza nnamwandu awaayo ssente |
|
|
||||
Olusozi olw’Emizeyituuni |
Ayogera ku kabonero akaliraga okubeerawo kwe |
|
||||
Engero: abawala ekkumi embeerera, ttalanta, endiga n’embuzi |
|
|
|
|||
Nisaani 12 (Apuli 5-6, 2020) |
Yerusaalemi |
Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya bakola olukwe okumutta |
|
|||
Yuda ateekateeka okumulyamu olukwe |
|
|||||
Nisaani 13 (Apuli 6-7, 2020) |
Yerusaalemi nʼokumpi nakyo |
Ateekateeka okukwata Okuyitako okusembayo |
|
|||
Nisaani 14 (Apuli 7-8, 2020) |
Yerusaalemi |
Akwata Okuyitako n’abatume |
|
|||
Anaaza abatume ebigere |
|
|
|
|||
Yesu akiraga nti Yuda agenda kumulyamu olukwe era amulagira okugenda |
||||||
Atandikawo omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe (1Ko 11:23-25) |
|
|||||
Agamba nti Peetero agenda kumwegaana era nti n’abatume bandisaasaanye |
||||||
Asuubiza omuyambi; ayogera ku muzabbibu ogw’amazima; awa etteeka ku kwagala; essaala gy’asembayo okusaba n’abatume |
|
|
|
|||
Gesusemane |
Awulira ennaku ey’amaanyi; aliibwamu olukwe era akwatibwa |
|||||
Yerusaalemi |
Anaasi amubuuza ebibuuzo; awozesebwa Kayaafa, Olukiiko olukulu; Peetero amwegaana |
|||||
Yuda yeetuga (Bik 1:18, 19) |
|
|
|
|||
Atwalibwa eri Piraato, eri Kerode, era azzibwayo eri Piraato |
||||||
Piraato ayagala okumuta naye Abayudaaya basaba ate Balabba; asalirwa ogw’okuttibwa ng’akomererwa ku muti |
||||||
(ssaawa nga 9 ez’olweggulo) |
Gologoosa |
Afiira ku muti ogw’okubonaabona |
||||
Yerusaalemi |
Omulambo gwe guggibwa ku muti ne guteekebwa mu ntaana |
|||||
Nisaani 15 (Apuli 8-9, 2020) |
Yerusaalemi |
Bakabona n’Abafalisaayo bafuna abakuumi okukuuma entaana |
|
|
|
|
Nisaani 16 (Apuli 9-10, 2020) |
Yerusaalemi n’emiriraano; Emawo |
Yesu azuukiziddwa; alabikira abayigirizwa emirundi etaano |
||||
Oluvannyuma lwa Nisaani 16 |
Yerusaalemi; Ggaliraaya |
Alabikira abayigirizwa (1Ko 15:5-7; Bik 1:3-8); abawa ebiragiro; abalagira okufuula abantu abayigirizwa |
|
|