Bye Tuyinza Okwogerako
●○○ OMULUNDI OGUSOOKA
Ekibuuzo: Katonda yalina kigendererwa ki okutonda abantu?
Ekyawandiikibwa: Lub 1:28
Eky’okulekawo: Tumanya tutya nti ekigendererwa Katonda kye yalina ng’atonda abantu kijja kutuukirira?
○●○ OKUDDIŊŊANA OKUSOOKA
Ekibuuzo: Tumanya tutya nti ekigendererwa Katonda kye yalina ng’atonda abantu kijja kutuukirira?
Ekyawandiikibwa: Is 55:11
Eky’okulekawo: Obulamu buliba butya nga Katonda atuukirizza ekigendererwa kye?
○○● OKUDDIŊŊANA OKW’OKUBIRI
Ekibuuzo: Obulamu buliba butya nga Katonda atuukirizza ekigendererwa kye?
Ekyawandiikibwa: Zb 37:10, 11
Eky’okulekawo: Kiki kye tulina okukola okusobola okuganyulwa mu bisuubizo bya Katonda?
KAWEEFUBE OW’OKUYITA ABANTU KU KIJJUKIZO (Maaki 14–Apuli 7):
“Tukuyita ku mukolo omukulu ennyo ogujja okubaako abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi yonna. Omukolo ogwo gwe gw’okujjukira okufa kwa Yesu.” Muwe akapapula akamuyita. “Akapapula kano kalaga ekiseera n’ekifo omukolo ogwo we gunaabeera mu kitundu kyaffe. Ate era tukwaniriza ku kwogera okw’enjawulo okujja okubaawo nga Apuli 5, 2020.”
Eky’Okulekawo ng’Omuntu Alaze Okusiima: Lwaki Yesu yafa?