Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Kiki Ekisinga Obukulu mu Bulamu Bwange?

Kiki Ekisinga Obukulu mu Bulamu Bwange?

Yakobo yameggana ne malayika asobole okufuna ekintu ekisinga obukulu, nga gwe mukisa gwa Yakuwa. (Lub 32:24-31; Kos 12:3, 4) Ate ffe? Tuli beetegefu okugondera Yakuwa tusobole okufuna emikisa gye? Ng’ekyokulabirako, bwe tuba nga tulina okusalawo wakati w’okugenda mu nkuŋŋaana n’okukola essaawa ezisukka ku za bulijjo ku mulimu, tunaasalawo tutya? Bwe tuwa Yakuwa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe, ajja ‘kutuyiira emikisa mingi nnyo gibulwe ne we gigya.’ (Mal 3:10) Ajja kutuwa obulagirizi, atukuume, era akole ne ku byetaago byaffe.​—Mat 6:33; Beb 13:5.

MULABE VIDIYO, NYWERERA KU BIRUUBIRIRWA EBY’EBY’OMWOYO, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ekintu mwannyinaffe kye yali ayagala ennyo kyamugezesa kitya?

  • Omulimu gwaffe guyinza gutya okuba ekigezo gye tuli?

  • Lwaki Timoseewo yali yeetaaga okweyongera okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo wadde nga yali mukulu mu by’omwoyo?​—1Ti 4:16

  • Kiki ekisinga obukulu mu bulamu bwo?

    Tuyinza tutya okumanya ekisinga obukulu mu bulamu bwaffe?