Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 32-33

Okola Kyonna Ekisoboka Okufuna Omukisa?

Okola Kyonna Ekisoboka Okufuna Omukisa?

32:24-28

Okusobola okufuna emikisa gya Yakuwa, tulina okufuba okukulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwaffe. (1Ko 9:26, 27) Mu buweereza bwaffe eri Yakuwa, tusaanidde okuba n’endowooza y’emu nga Yakobo gye yalina ng’ameggana ne malayika. Tukiraga nti tufuba okufuna emikisa gya Yakuwa nga . . .

  • Tweteekerateekera bulungi enkuŋŋaana

  • Twenyigira mu buweereza obutayosa

  • Tufuba okuyamba abalala mu kibiina

K’obe ng’oli mu mbeera enzibu, bulijjo saba Yakuwa akuyambe era awe obuweereza bwo emikisa.

WEEBUUZE, ‘Wa we nnyinza okwongeramu amaanyi nsobole okufuna emikisa gya Yakuwa?’