Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Apuli 27–Maayi 3

OLUBEREBERYE 34-35

Apuli 27–Maayi 3

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Ebizibu Ebiva mu Kuba n’Emikwano Emibi”: (Ddak. 10)

    • Lub 34:1​—Dina yakyaliranga abawala b’omu Kanani (w97-E 2/1 lup. 30 ¶4)

    • Lub 34:2​—Sekemu yasobya ku Dina (lvs lup. 124 ¶14)

    • Lub 34:7, 25​—Simiyoni ne Leevi batta Sekemu n’abasajja bonna abaali mu kibuga kye (w09 10/1 lup. 16 ¶1-2)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)

    • Lub 35:8​—Debola yali ani, era kiki kye tumuyigirako? (it-1-E lup. 600 ¶4)

    • Lub 35:22-26​—Tumanya tutya nti olunyiriri Masiya mwe yava terwalina kakwate na mugabo gwa mwana mubereberye? (w17.12 lup. 14)

    • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Lub 34:1-19 (th essomo 5)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo. Oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Alice afubye atya okutuuka ku mutima gw’oyo gw’abadde abuulira? Tuyinza tutya okutandika okuyigiriza omuntu Bayibuli nga tukozesa akatabo Bye Tuyiga?

  • Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 13)

  • Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5 oba obutawera) fg essomo 4 ¶6-7 (th essomo 14)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO