OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Muggyeewo Bakatonda Abalala”
Yakobo yali akimanyi nti Yakuwa ayagala abantu okumwemalirako, wadde nga Yakuwa yali tannassaawo tteeka ligaana kusinza bifaananyi. (Kuv 20:3-5) Yakuwa bwe yamugamba okuddayo e Beseri, Yakobo yalagira ab’omu nnyumba ye bonna okweggyako ebibumbe bya bakatonda abalala. Oluvannyuma Yakobo yabiziika, nga mw’otwalidde n’eby’oku matu oboolyawo bye baakozesanga mu kusinga bakatonda abo. (Lub 35:1-4) Awatali kubuusabuusa, ekyo Yakobo kye yakola kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Yakuwa.
Leero, tuyinza tutya okukiraga nti twemalidde ku Yakuwa? Tusaanidde okwewala ekintu kyonna ekirina akakwate n’okusinza ebifaananyi oba eby’obusamize. Ekyo kizingiramu n’okweggyako eby’okwesanyusaamu ebirimu eby’obusamize. Ng’ekyokulabirako, weebuuze nti: ‘Nnyumirwa okusoma ebitabo oba okulaba firimu ezirimu vampaya, obulogo, oba obufuusa? Eby’okwesanyusaamu ebirimu ebintu ng’ebyo biragibwa ng’ebitalina mutawaana gwonna.’ Naye tusaanidde okwewalira ddala ekintu kyonna Yakuwa ky’akyawa.—Zb 97:10.
MULABE VIDIYO, “MUZIYIZENGA OMULYOLYOMI,” OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Kizibu ki omuyizi wa Bayibuli ayitibwa Palesa kye yalina?
-
Lwaki kya magezi okusaba abakadde batuyambe bwe wabaawo atawaanyizibwa badayimooni?
-
Bintu ki abo abaagala obukuumi bwa Yakuwa bye balina okweggirako ddala?
-
Kiki Palesa kye yasalawo okukola?
-
Mu kitundu ky’obeeramu, kiki ky’oyinza okukola okwewala okulumbibwa badayimooni?