Ababuulizi nga bayigiriza omuntu Bayibuli mu Chile

OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Ddesemba 2016

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Ennyanjula ze tuyinza okukozesa okugaba Zuukuka, n’okubuulira amazima agali mu Bayibuli agalaga ensonga lwaki waliwo okubonaabona. Kozesa ebyokulabirako ebyo okutegeka ennyanjula zo.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

“Mujje Twambuke ku Lusozi lwa Yakuwa”

Nabbi Isaaya yayogera ku bw’okulwanyisa okukolebwamu ebintu ebikozesebwa mu nnimiro, ekiraga nti abantu ba Yakuwa bandibadde banoonya emirembe. (Isaaya 2:4)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutuuka ku Mutima gw’Omuyizi nga Tukozesa Akatabo ‘Mwekuumire mu Kwagala kwa Katonda’

Akatabo “Kwagala kwa Katonda” kayamba abayizi ba Bayibuli okutegeera engeri gye bayinza okukolera ku misingi gya Bayibuli.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Masiya Yatuukiriza Obunnabbi

Nnabbi Isaaya yalagula nti Masiya yandibuulidde mu kitundu ky’e Ggaliraaya. Yesu yatuukiriza obunnabbi obwo bwe yatambula mu kitundu ekyo ng’agenda abuulira amawulire amalungi.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

“Nzuuno! Ntuma!”

Tuyinza tutya okukoppa okukkiriza kwa Isaaya n’omwoyo gw’okwewaayo gwe yayoleka? Yigira ku maka abaagenda okubuulira mu kitundu awali obwetaavu obusingako.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Ensi Erijjula Okumanya Yakuwa

Obunnabbi bwa Isaaya obukwata ku nsi empya bwatuukirira butya mu biseera eby’eddwa, butuukirira butya kati, era bunaatuukirira butya mu biseera eby’omu maaso?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yakuwa by’Atuyigiriza Bituyamba Okwewala Obusosoze

Abasajja abaali bataagalana baafuuka ba luganda—ekyo kiraga nti Yakuwa by’atuyigiriza bituganyula.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Omuntu bw’Akozesa Obubi Obuyinza Kimuviiramu Okubufiirwa

Sebuna yandikozesezza atya obuyinza bwe yalina? Lwaki Yakuwa yamuggyako obuyinza n’abuwa Eriyakimu?