Masiya Yatuukiriza Obunnabbi
Ng’ebulayo ebikumi n’ebikumi by’emyaka Yesu azaalibwe, nnabbi Isaaya yalagula nti Masiya yandibuulidde “mu kitundu kya Yoludaani, Ggaliraaya eky’amawanga.” Yesu yatuukiriza obunnabbi obwo bwe yatambula mu Ggaliraaya mwonna ng’abuulira amawulire amalungi.
-
Yakola ekyamagero ekyasooka
—Yok 2:1-11 (Kaana) -
Yalonda abatume be
—Mak 3:13, 14 (okumpi n’e Kaperunawumu) -
Yayigiriza ku lusozi
—Mat 5:1–7:27 (okumpi n’e Kaperunawumu) -
Yazuukiza omwana wa nnamwandu
—Luk 7:11-17 (Nayini) -
Yalabikira abayigirizwa nga 500 oluvannyuma lw’okuzuukira
—1Ko 15:6 (Ggaliraaya)