OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Nzuuno! Ntuma!”
Nnabbi Isaaya yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Yayoleka okukkiriza okw’amaanyi bwe yakkiriza Yakuwa okumutuma wadde nga yali tamanyi byonna bizingirwamu. (Is 6:8) Osobola okulowooza ku ky’okugenda okubuulira awali obwetaavu obusingako? (Zb 110:3) Kyo kituufu nti kyetaagisa okusooka ‘okutuula wansi n’obalirira ebyetaagisa’ okusobola okugenda mu kitundu ekirala. (Luk 14:27, 28) Naye beera mwetegefu okwefiiriza osobole okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira mu bujjuvu. (Mat 8:20; Mak 10:28-30) Nga bwe tugenda okulaba mu vidiyo erina omutwe ogugamba nti Okugenda Okuweereza Awali Obwetaavu Obusingako, emikisa gye tufuna mu kuweereza Yakuwa gisingira wala ekintu kyonna kye tuyinza okwefiiriza.
OLUVANNYUMA LW’OKULABA VIDIYO, MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
-
Biki ow’Oluganda Williams n’ab’omu maka ge bye beefiiriza okusobola okugenda okubuulira mu Ecuador?
-
Biki bye baalowoozaako nga balonda ekitundu eky’okugendamu?
-
Mikisa ki gye baafuna?
-
Bw’oba oyagala okumanya ebisingawo ebikwata ku kubuulira awali obwetaavu obusingako, oyinza kubiggya wa?
MU KUSINZA KW’AMAKA OKUDDAKO, MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
-
Tuyinza tutya okugaziya obuweereza bwaffe ng’amaka? (km 8/11 4-6)
-
Bwe tuba tetusobola kugenda kuweereza awali obwetaavu obusingako, tuyinza tutya okuyamba ekibiina kyaffe? (w16.03 23-25)