Ensi Erijjula Okumanya Yakuwa
Engeri obunnabbi buno gye bwatuukirira ku Bayisirayiri
-
Abayisirayiri bwe baali baddayo mu nsi yaabwe nga bava mu buwaŋŋanguse e Babulooni era ne bwe baatuuka mu nsi yaabwe, tewaaliwo kibaleetera kutya, ka zibe nsolo nkambwe oba abantu abakambwe ng’ensolo.
—Ezr 8:21, 22
Engeri obunnabbi obwo gye butuukiridde mu kiseera kyaffe
-
Abantu bangi bakoze enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe oluvannyuma lw’okumanya Yakuwa. Abantu abaali abakambwe bafuuse ba mirembe. Abantu abamanyi Yakuwa bali mu lusuku olw’eby’omwoyo
Engeri obunnabbi obwo gye bunaatuukirira mu biseera eby’omu maaso
-
Ensi yonna ejja kulongooka ebeeremu emirembe n’obutebenkevu, ng’ekigendererwa kya Katonda bwe kyali. Mu kiseera ekyo tewalibaawo nsolo nkambwe, oba abantu abakambwe
Pawulo yakola enkyukakyuka oluvannyuma lw’okumanya Katonda
-
Omutume Pawulo bwe yali akyali Mufalisaayo, yali mukambwe nnyo.
—1Ti 1:13 -
Okumanya amazima kwamuleetera okukyusa enneeyisa ye.
—Bak 3:8-10