OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Yakuwa by’Atuyigiriza Bituyamba Okwewala Obusosoze
Yakuwa tasosola. (Bik 10:34, 35) Asembeza abantu okuva “mu buli ggwanga n’ebika . . . n’ennimi.” (Kub 7:9) N’olwekyo, mu kibiina Ekikristaayo temusaanidde kubaamu busosoze oba kyekubiira. (Yak 2:1-4) Olw’okuba Yakuwa atuyigiriza, tuli mu lusuku olw’eby’omwoyo omuli abantu abakoze enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe ne bafuuka abantu abalungi. (Is 11:6-9) Bwe tufuba okweggyamu obusosoze, tuba tukoppa Katonda.
MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, JOHNY NE GIDEON ABAALI BATAAGALANA KATI BA LUGANDA. OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
-
Lwaki ebyo Yakuwa by’atuyigiriza bituyambye okweggyamu obusosoze, ng’ate abantu bafubye nnyo okubumalawo naye ne balemererwa?
-
Owulira otya bw’olowooza ku luganda lwaffe olw’ensi yonna?
-
Bwe tusigala nga tuli bumu kireetera kitya Yakuwa ettendo?