Ddesemba 5-11
ISAAYA 1-5
Oluyimba 107 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Mujje Twambuke ku Lusozi lwa Yakuwa”: (Ddak. 10)
[Mulabe vidiyo, Ennyanjula y’Ekitabo kya Isaaya.]
Is 2:2, 3
—“Olusozi lw’Ennyumba ya Yakuwa” lukiikirira okusinza okulongoofu (ip-1-E 38-41 ¶6-11; 44-45 ¶20-21) Is 2:4
—Abantu abasinza Yakuwa tebayiga kulwana (ip-1-E 46-47 ¶24-25)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Is 1:8, 9
—Mu ngeri ki Muwala wa Sayuuni gye yalekebwawo “ng’ekiyumba ekiri mu nnimiro y’emizabbibu”? (w07 3/1 6 ¶5) Is 1:18
—Yakuwa yali ategeeza ki bwe yagamba nti: “Mujje tutereeze ensonga”? (w07 3/1 7 ¶1; it-2-E 761 ¶3) Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?
Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Is 5:1-13
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Tegeka Ennyanjula z’Omwezi Guno (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo eziraga ennyanjula ze tuyinza okukozesa, era oluvannyuma lwa buli vidiyo, mukubaganye ebirowoozo. Kubiriza ababuulizi okutegeka ennyanjula ezaabwe.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Oluyimba 139
Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 7) Oba oyinza okusalawo okwogera ku by’okuyiga ebiri mu katabo Yearbook. (yb16-E 32 ¶3–34 ¶1)
“Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutuuka ku Mutima gw’Omuyizi nga Tukozesa Akatabo ‘Mwekuumire mu Kwagala kwa Katonda’”: (Ddak. 8) Kukubaganya Birowoozo. Abo bonna abalina emboozi ey’okusatu omwezi guno mu kitundu ekirina omutwe “Buulira n’Obunyiikivu,” bakubirize okukolera ku magezi agaweebwa mu kitabo Ssomero ly’Omulimu olupapula 261-262.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lv ebyongerezeddwako lup. 209-212
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 154 n’Okusaba
Mujjukizibwa: okuwuliriza oluyimba olwo omulundi gumu oluvannyuma muluyimbire wamu.