“Mujje Twambuke ku Lusozi lwa Yakuwa”
“Mu nnaku ezisembayo” |
Nga kye kiseera kye tulimu kati |
“Olusozi lw’ennyumba ya Yakuwa” |
Nga kuno kwe kusinza okw’amazima |
“Amawanga gonna galyekuluumululira okwo” |
Abo abaagala okusinza okw’amazima bakuŋŋaanyizibwa era bali bumu |
“Mujje twambuke ku lusozi lwa Yakuwa” |
Abasinza Yakuwa bayita abantu abalala babeegatteko |
“Anaatuyigiriza amakubo ge, era tunaatambulira mu mpenda ze” |
Yakuwa atuyigiriza ng’akozesa Ekigambo kye, era atuyamba okutambulira mu makubo ge |
“Tebaliyiga kulwana nate” |
Isaaya yagamba nti eby’okulwanyisa birikolebwamu ebintu ebikozesebwa mu nnimiro, ekiraga nti abantu ba Yakuwa bandikoze ebintu ebireetawo emirembe. Biki ebyakozesebwanga mu nnimiro mu kiseera kya Isaaya? |
“Ebitala byabwe balibikolamu enkumbi” |
1 Enkumbi ezoogerwako wano zeezo ezaasikibwanga ente, era ezimu zaabanga za byuma. |
“Amafumu gaabwe baligakolamu ebiwabyo” |
2 Ebiwabyo byakozesebwanga kusalira mizabbibu. |