OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutuuka ku Mutima gw’Omuyizi nga Tukozesa Akatabo ‘Mwekuumire mu Kwagala kwa Katonda’
LWAKI KIKULU: Omuntu okusobola okusinza Katonda mu ngeri entuufu, alina okutegeera emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu era n’agigoberera. (Is 2:3, 4) Akatabo ‘Kwagala kwa Katonda’ kayamba abayizi ba Bayibuli okutegeera engeri gye bayinza okukolera ku misingi gya Bayibuli. (Beb 5:14) Bwe tuba tubayigiriza, tusaanidde okufuba okutuuka ku mitima gyabwe kibaleetere okwagala okukolera ku ebyo bye bayiga.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
-
Weeteeketeeke bulungi era olowooze ku muyizi wo. Lowooza ku bibuuzo by’onoomubuuza, kikusobozese okumanya ky’alowooza ku nsonga gye muliko.
—Nge 20:5; be 259 -
Kozesa obusanduuko obuli mu katabo ako okuyamba omuyizi okulaba emiganyulo egiri mu kukolera ku misingi gya Bayibuli
-
Yamba omuyizi okutegeera emisingi gy’ayinza okukozesa ng’asalawo ku nsonga ezitali zimu, naye tomusalirawo.
—Bag 6:5 -
Fuba okumanya obanga omuyizi yeetaaga obuyambi okukolera ku misingi gya Bayibuli egimu. Bw’oba omukubiriza okukola enkyukakyuka, tomukaka wabula muleke yeesalirewo ng’asinziira ku kwagala kw’alina eri Yakuwa.
—Nge 27:11; Yok 14:31