Bayimba nga bali mu kusinza kwa maka mu South Africa

OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Ddesemba 2018

Bye Tuyinza Okwogerako

Bye tuyinza okwogerako ebikwata ku kigendererwa ky’obulamu n’ebisuubizo bya Katonda eby’ebiseera eby’omu maaso.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Eyali Ayigganya Ennyo Abakristaayo Afuuka Omubuulizi Omunyiikivu

Bw’oba ng’oyiga Bayibuli naye nga tonnaba kubatizibwa, onookoppa Sawulo n’okolera ku ebyo by’oyiga?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Balunabba ne Pawulo Bafuula Abantu Abayigirizwa mu Bitundu eby’Ewala

Wadde nga Balunabba ne Pawulo bayigganyizibwa nnyo, baafuba nnyo okuyamba abo abaali abawombeefu okufuuka Abakristaayo.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuyamba Abo Abalina ‘Endowooza Ennuŋŋamu’ Okufuuka Abayigirizwa

Tukolera tutya awamu ne Yakuwa okufuula abantu abayigirizwa?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Okusalawo Okwali Kwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda

Biki bye tuyigira ku ngeri ensonga eyo gye yagojoolwamu?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yimba n’Essanyu Ennyimba Ezitendereza Yakuwa

Miganyulo ki egiri mu kuyimba ennyimba z’Obwakabaka?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Koppa Engeri Omutume Pawulo gye Yabuuliramu ne gye Yayigirizaamu

Tuyinza tutya okukoppa omutume Pawulo?

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

“Mwekuume Era Mukuume n’Ekisibo Kyonna”

Abakadde baliisa, bakuuma, era balabirira ekisibo, nga bajjukira nti buli ndiga yagulibwa n’omusaayi gwa Kristo ogw’omuwendo.