OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuyamba Abo Abalina ‘Endowooza Ennuŋŋamu’ Okufuuka Abayigirizwa
LWAKI KIKULU: Yakuwa asobozesa ensigo ey’amazima okukula mu mitima gy’abo abalina “endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.” (Bik 13:48; 1Ko 3:7) Tukolera wamu naye nga tufuba okuyamba abo abakolera ku ebyo bye bayiga. (1Ko 9:26) Balina okutegeera nti beetaaga okubatizibwa okusobola okulokolebwa. (1Pe 3:21) Tuyamba abayizi baffe aba Bayibuli okufuuka abayigirizwa nga tubayamba okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe, okuyiga okubuulira n’okuyigiriza, n’okuwaayo obulamu bwabwe eri Yakuwa.—Mat 28:19, 20.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
-
Jjukiza abayizi bo nti ekigendererwa ky’okuyiga Bayibuli kwe kubayamba ‘okumanya’ Yakuwa n’okukola ebimusanyusa.—Yok 17:3
-
Bayambe okukulaakulana mu by’omwoyo ng’obalaga engeri gye bayinza okuvvuunuka emize emibi n’okwewala emikwano emibi
-
Bayambe okunywera era obazzeemu amaanyi nga tebannaba kubatizibwa era n’oluvannyuma lw’okubatizibwa.—Bik 14:22
MULABE VIDIYO, YAKUWA KATONDA AJJA KUKUYAMBA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Biki ebiyinza okulemesa omuntu okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa?
-
Abakadde bayinza batya okuyamba abayizi ba Bayibuli okukulaakulana mu by’omwoyo?
-
Isaaya 41:10 lutuyigiriza ki ku Yakuwa?
-
Ngeri ki ezinaatuyamba okuweereza Yakuwa mu ngeri gy’asiima wadde nga tetuukiridde?