Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ddesemba 24-30

EBIKOLWA 17-18

Ddesemba 24-30
  • Oluyimba 78 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Koppa Engeri Omutume Pawulo Gye Yabuuliramu ne Gye Yayigirizaamu”: (Ddak. 10)

    • Bik 17:2, 3—Pawulo yakubaganyanga n’abantu ebirowoozo ku Byawandiikibwa era yakozesanga obukakafu obuli mu buwandiike (“n’akubaganya nabo ebirowoozo” nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 17:2; “ng’akozesa obukakafu obuli mu buwandiike” nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 17:3)

    • Bik 17:17—Pawulo yabuuliranga yonna gye yasanganga abantu (“katale:” nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 17:17)

    • Bik 17:22, 23—Pawulo yeetegerezanga ebintu ebyabangawo era yayogeranga ku bintu bye baabanga basobola okukkiriziganyaako (“Ekyoto kya Katonda Gwe Tutamanyi” nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 17:22, 23)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Bik 18:18—Kiki kye tusobola okwogera ku bweyamo Pawulo bwe yakola? (w08 5/15 lup. 32 ¶6)

    • Bik 18:21—Tuyinza tutya okukoppa Pawulo bwe tuba tulina ebiruubirirwa eby’omwoyo bye twagala okutuukako? (“Yakuwa bw’anaaba ayagadde” nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 18:21)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?

    • Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Bik 17:1-15

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Mubuulire ebiri mu vidiyo erina omutwe, Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli? (naye togimulaga)

  • Okuddiŋŋana okw’Okusatu: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ekyawandiikibwa kye weerondedde, oluvannyuma omuwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli.

  • Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) jl essomo 7

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 70

  • Buulira Amawulire Amalungi mu Bujjuvu era Yigiriza: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Okusinza kw’Amaka: Pawulo—Yabuulira Amawulire Amalungi mu Bujjuvu. Oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino: Ab’omu maka be tulabye mu vidiyo eyo baakiraba batya nti baali beetaaga okulongoosa mu buweereza bwabwe? Biki bye baayigira ku mutume Pawulo? Mikisa ki gye baafuna? Biki bye muyinza okukubaganyaako ebirowoozo mu kusinza kw’amaka?

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 47

  • Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)

  • Oluyimba 151 n’Okusaba