Ddesemba 31, 2018–Jjanwali 6, 2019
EBIKOLWA 19-20
Oluyimba 103 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Mwekuume era Mukuume n’Ekisibo Kyonna”: (Ddak. 10)
Bik 20:28—Abakadde balabirira ekibiina (w11 6/15 lup. 20 ¶5)
Bik 20:31—Abakadde bayamba ekibiina “emisana n’ekiro” bwe kiba kyetaagisizza (w13 1/15 lup. 31 ¶15)
Bik 20:35—Abakadde basaanidde okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza (bt-E lup. 172 ¶20)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Bik 19:9—Omutume Pawulo yateekawo atya ekyokulabirako mu kuba omunyiikivu n’okutuukagana n’embeera z’abantu? (bt-E lup. 161 ¶11)
Bik 19:19—Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako Abeefeso kye bassaawo? (bt-E lup. 162-163 ¶15)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Bik 19:1-20
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muwe kaadi eragirira abantu ku JW.ORG.
Okuddiŋŋana okw’Okusatu: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ekyawandiikibwa kye weerondedde, n’ekibuuzo ky’onoddamu ku mulundi oguddako.
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) jl essomo 15
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Tendeka Abavubuka Abaluubirira Enkizo mu Kibiina: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino: Abakadde balina buvunaanyizibwa ki mu kibiina? (Bik 20:28) Lwaki abakadde basaanidde okweyongera okutendeka abalala? Abakadde bayinza batya okukoppa engeri Yesu gye yatendekamu abatume be? Ab’oluganda basaanidde kuba na ndowooza ki ku kutendekebwa? (Bik 20:35; 1Ti 3:1) Abakadde bayinza kubatendeka batya? Abakadde basaanidde kuba na ndowooza ki eri abo be batendeka?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 48
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 118 n’Okusaba