Ddesemba 23-29
OKUBIKKULIRWA 17-19
Oluyimba 149 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Olutalo lwa Katonda Olujja Okumalawo Entalo Zonna”: (Ddak. 10)
Kub 19:11, 14-16—Kristo Yesu ajja kutuukiriza omusango Katonda gw’ajja okusala mu butuukirivu (w08-E 4/1 lup. 8 ¶3-4; it-1-E lup. 1146 ¶1)
Kub 19:19, 20—Ensolo ne nnabbi ow’obulimba bijja kuzikirizibwa (re-E lup. 286 ¶24)
Kub 19:21—Abantu bonna abawakanya obufuzi bwa Katonda bajja kuzikirizibwa (re-E lup. 286 ¶25)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Kub 17:8—Nnyonnyola engeri ‘ensolo gye yaliwo, ate n’etabaawo, era oluvannyuma n’eddamu okubaawo.’ (re-E lup. 247-248 ¶5-6)
Kub 17:16, 17—Tumanya tutya nti amadiini ag’obulimba tegajja kuvaawo mpolampola? (w12 6/15 lup. 18 ¶17)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Kub 17: 1-11 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 8)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5 oba obutawera) jl essomo 8 (th essomo 13)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Mpa Obuvumu: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo y’oluyimba, Mpa Obuvumu. Oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino: Mbeera ki mu bulamu ezitwetaagisa okwoleka obuvumu? Biki ebyogerwako mu Bayibuli ebikuleetera okuba omuvumu? Baani abali naffe? Oluvannyuma, saba abawuliriza bayimirire muyimbe oluyimba olina omutwe, “Mpa Obuvumu” (oluyimba olw’ebigambo byokka nga ze tukozesa mu nkuŋŋaana).
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 96
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 136 n’Okusaba