Ddesemba 30, 2019–Jjanwali 5, 2020
OKUBIKKULIRWA 20-22
Oluyimba 146 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Laba! Ebintu Byonna Mbizza Buggya”: (Ddak. 10)
Kub 21:1—“Eggulu eryasooka n’ensi eyasooka byali biweddewo” (re-E lup. 301 ¶2)
Kub 21:3, 4—“Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo” (w13 12/1 lup. 11 ¶2-4)
Kub 21:5—Yakuwa by’asuubiza byesigika (w03 8/1 lup. 24 ¶14)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Kub 20:5—“Abafu abalala” baliramuka batya ng’emyaka 1,000 giweddeko? (it-2-E lup. 249 ¶2)
Kub 20:14, 15—“Ennyanja ey’omuliro” kye ki? (it-2-E lup. 189-190)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Kub 20: 1-15 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Okuddiŋŋana okw’Okusatu: (Ddak. 3 oba obutawera) Weerondere ekyawandiikibwa ky’onookozesa, era oluvannyuma omuwe akapapula akayita abantu mu nkuŋŋaana. (th essomo 3)
Okuddiŋŋana okw’Okusatu: (Ddak. 4 oba obutawera) Weerondere ekyawandiikibwa ky’onookozesa, era oluvannyuma omuwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. (th essomo 9)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5 oba obutawera) jl essomo 12 (th essomo 6)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutuukana n’Embeera”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 97
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 80 n’Okusaba