Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—​Okutuukana n’Embeera

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—​Okutuukana n’Embeera

LWAKI KIKULU: Abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala bayita abantu aba buli ngeri okujja ‘okutwala amazzi ag’obulamu ku bwereere.’ (Kub 22:17) Amazzi ago ag’akabonero gakiikirira ebintu eby’omwoyo byonna Yakuwa by’ataddewo okununula abantu abawulize okuva mu kibi n’okufa. Okusobola okuyamba abantu abaakulira mu mbeera ez’enjawulo era ab’amadiini ag’enjawulo, tulina okubabuulira “amawulire amalungi ag’emirembe n’emirembe” mu ngeri ekwata ku buli muntu kinnoomu.​—Kub 14:6.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Londa ensonga gy’onooyogerako n’ekyawandiikibwa ebijja okutuuka ku mitima gy’abantu abali mu kitundu kyo. Oyinza okukozesa emu ku nnyanjula eziri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako oba okukozesa ennyanjula endala gye wakozesaako n’evaamu ebirungi. Nsonga ki era byawandiikibwa ki ebitera okukwata ku bantu? Waliwo ekintu ekibadde mu mawulire abantu kye balowoozaako? Kiki ekiyinza okusikiriza omusajja oba omukazi?

  • Lamusa mu ngeri gye balamusaamu mu kitundu kyo.​2Ko 6:3, 4

  • Manya bulungi ebitabo ne vidiyo bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli osobole obikozesa ng’omuntu alaze okusiima

  • Wanula ebitabo oba vidiyo mu nnimi ezoogerwa abantu abali mu kitundu ky’obuuliramu

  • Kyusakyusa mu nnyanjula z’okozesa osobole okutuukana n’ebyetaago by’omuntu gw’obuulira. (1Ko 9:19-23) Ng’ekyokulabirako, kiki kye wandyogeddeko singa okimanya nti oyo gw’obuulira yaakafiirwa omuntu we?

MULABE VIDIYO, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Nsonga ki omubuulizi gy’asoose okwogerako?

  • Kizibu ki omuntu gw’abadde abuulira ky’abadde nakyo?

  • Byawandiikibwa ki ebibadde bituukana n’embeera eyo, era lwaki?

  • Okyusakyusa otya mu nnyanjula yo osobole okusikiriza abantu abali mu kitundu ky’obuuliramu?