Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Ensi ‘Yamira Omugga’

Ensi ‘Yamira Omugga’

Okuva edda n’edda, emirundi egimu ab’obuyinza babaddenga bayamba abantu ba Yakuwa. (Ezr 6:1-12; Es 8:10-13) Ne leero, “ensi,” nga be b’obuyinza abalina endowooza ennuŋŋamu, emize “omugga,” nga kwe kuyigganyizibwa okuva eri “ogusota,” Sitaani Omulyolyomi. (Kub 12:16) Yakuwa “Katonda atulokola,” emirundi mingi aleetera abafuzi b’ensi okuyamba abantu be.​—Zb 68:20; Nge 21:1.

Watya singa osibiddwa mu kkomera olw’okukkiriza kwo? Tolowooza nti Yakuwa takufaako. (Lub 39: 21-23; Zb 105:17-20) Beera mukakafu nti Yakuwa ajja kukuwa emikisa olw’okukkiriza kw’oyoleka era nti obwesigwa bwo buzzaamu baganda bo abali mu nsi yonna amaanyi.​—Baf 1:12-14; Kub 2:10.

MULABE VIDIYO, AB’OLUGANDA MU KOREA BASUMULUDDWA OKUVA MU KKOMERA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Lwaki baganda baffe nkumi na nkumi mu South Korea babaddenga basibibwa mu kkomera?

  • Kkooti yasalawo ki ekyaleetera baganda baffe abamu okusumululwa mu kkomera ng’ekiseera kye baabasalira tekinnaggwako?

  • Tuyinza tutya okuyamba baganda baffe mu nsi yonna abasibiddwa mu makomera olw’okukkiriza kwabwe?

  • Eddembe lye tulina kati tuyinza kulikozesa tutya?

  • Ani gwe tulina okutendereza olw’obuwanguzi bwe tutuuseeko mu kkooti?

Eddembe lye nnina ndikozesa ntya?