Ddesemba 14-20
EBY’ABALEEVI 12-13
Oluyimba 140 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Bye Tuyigira ku Mateeka Agakwata ku Bulwadde bw’Ebigenge”: (Ddak. 10)
Lev 13:4, 5—Abantu abaabanga n’obulwadde bw’ebigenge baayawulibwanga ku bantu abalamu (wp18.1 lup. 7)
Lev 13:45, 46—Abalwadde b’ebigenge baalinanga okwewala okusiiga abalala obulwadde obwo (wp16.4 lup. 9 ¶1)
Lev 13:52, 57—Ebintu ebyabangako obulwadde bw’ebigenge byalinanga okwokebwa (it-2-E lup. 238 ¶3)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Lev 12:2, 5—Lwaki okuzaala kwafuulanga omukazi ‘atali mulongoofu’? (w04 6/1 lup. 21 ¶2)
Lev 12:3—Nsonga ki eyinza okuba nga ye yaleetera Yakuwa okugamba Abayisirayiri okukomola abaana ab’obulenzi ku lunaku olw’omunaana? (wp18.1 lup. 7)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Lev 13: 9-28 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Tony akozesezza atya obulungi ebibuuzo? Annyonnyodde atya obulungi ekyawandiikibwa?
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa emu ku nsonga abantu ze batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 19)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 5 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muwe brocuwa Amawulire Amalungi, era otandike okumuyigiriza Bayibuli ng’okozesa essomo 11. (th essomo 9)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 15)
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30 oba obutawera) rr sul. 2 ¶1-9, vidiyo eyanjula essuula
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 28 n’Okusaba