Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Weeyongere Okukozesa Magazini

Weeyongere Okukozesa Magazini

Okuva mu 2018, magazini ze tugabira abantu zibaddenga zoogera ku nsonga emu emu. Magazini ezo ze zimu ku bintu bye tukozesa okuyamba abantu okumanya ebikwata ku Katonda. N’olwekyo, tusaanidde okuzikozesa mu buweereza. Ate era tuyinza okutambulangako ne magazini entonotono bwe tuba tuliko gye tulaga oba nga tugenda okugula ebintu. Magazini zino tezitegekebwa nga za kukozesebwa kuyigiriza bantu Bayibuli, naye zisobola okuyamba abantu okwagala okumanya ebisingawo ebikwata ku Katonda.

Oluvannyuma lw’okutandika okunyumya n’omuntu, musomereyo ekyawandiikibwa era oyogere ku nsonga eyinza okumukwatako eyogerwako mu magazini. Ng’ekyokulabirako, bw’aba ng’alina abaana oba ng’alina ebimweraliikiriza oyinza okumugamba nti: “Nnina kye nnasomye ekikwata ku nsonga eyo. Wandyagadde nkikulageko?” Bw’okiraba nti yandyagadde okumanya ebisingawo, oyinza okumuwa kopi ya magazini oba okugimuweereza ng’okozesa essimu, ne ku mulundi gw’osoose okwogera naye. Wadde ng’ekigendererwa kyaffe ekikulu si kya kugaba magazini, magazini zisobola okutuyamba okuzuula abo abalina endowooza ennuŋŋamu.​—Bik 13:48.

2018

2019

2020

 

Nsonga ki ezisinga okukwata ku bantu mu kitundu ky’obuuliramu?