Bye Tuyigira ku Ebyo Ebyakolebwanga ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi
Kiki kye tuyigira ku ngeri obubaani gye bwakozesebwangamu ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi?
-
Essaala z’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa ziringa obubaani. (Zb 141:2) Nga kabona bwe yaleetanga obubaani mu maaso ga Yakuwa mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa, naffe bwe tuba tusaba Yakuwa, tusaanidde okuba abawombeefu era n’okwogera mu ngeri emuweesa ekitiibwa
-
Kabona asinga obukulu yalinanga okusooka okwotereza obubaani nga tannaba kuwaayo ssaddaaka. Mu ngeri y’emu, Yesu bwe yali tannaba kuwaayo bulamu bwe nga ssaddaaka yalina kusooka kubeera mwesigwa eri Yakuwa, Yakuwa okusobola okukkiriza ssaddaaka ye
Biki bye nnina okukola, Yakuwa okusobola okukkiriza ssaddaaka ze mpaayo gy’ali?