OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Wandyagadde Okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka?
Oli wakati w’emyaka 23 ne 65 era oli mu buweereza obw’ekiseera kyonna? Oli mulamu bulungi, era oli mwetegefu okuweereza wonna awali obwetaavu obusingako? Bwe kiba bwe kityo, wali olowoozezza ku ky’okujjuzaamu foomu ey’okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka? Okuva essomero eryo lwe lyatandikibwawo, ababuulizi nkumi na nkumi abafumbo, n’ab’oluganda ne bannyinaffe abali obwannamunigina, bajjuzizzaamu foomu eyo. Kyokka, ab’oluganda abali obwannamunigina beetaagibwa nnyo. Saba Yakuwa akuyambe okwagala okumuweereza mu ngeri esingako n’okukoppa Omwana we. (Zb 40:8; Mat 20:28; Beb 10:7) Oluvannyuma, baako enkyukakyuka z’okola mu nteekateeka zo osobole okutuukiriza ebisaanyizo ebyetaagibwa.
Abo abamaze okutendekebwa mu ssomero lino, bafunye nkizo ki ez’obuweereza? Abamu basindikiddwa okuweerereza mu bitundu gye boogera ennimi endala oba okubuulira mu bifo awayita abantu abangi mu bibuga ebinene. Abalala oluvannyuma balondebwa okuweereza ng’abalabirizi b’ebitundu, ng’abo abayambako abalabirizi b’ebitundu, oba ng’abaminsani. Ng’olowooza ku ebyo by’osobola okukola mu buweereza bwo, beera n’endowooza ng’eya nnabbi Isaaya eyagamba nti: “Nzuuno! Ntuma!”—Is 6:8.
MULABE VIDIYO, ABAMINSANI—BAKOZI MU MULIMU GW’AMAKUNGULA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Abaminsani balondebwa batya?
-
Mirimu ki abaminsani gye bakola?
-
Mikisa ki abo abaweereza ng’abaminsani gye bafuna?