OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Bwe Tuwagira Enteekateeka ya Yakuwa ey’Okukangavvula Tuba Twoleka Okwagala
Okugoba mu kibiina omwonoonyi ateenenyezza, kikuuma ekibiina nga kiyonjo era kiyamba omwonoonyi oyo. (1Ko 5:6, 11) Bwe tuwagira enteekateeka eyo ey’okukangavvula, tuba twoleka okwagala. Naye ekyo kyoleka kitya okwagala, ng’ate okugoba omuntu mu kibiina kireeta obulumi eri oyo aba agobeddwa, ab’eŋŋanda ze, n’abakadde abamuwadde okukangavvula okwo?
Okusookera ddala, tuba tulaga nti tetwagala linnya lya Yakuwa lisiigibwe nziro era nti twagala emitindo gye egy’obutuukirivu. (1Pe 1:14-16) Ate era tuba tulaga nti twagala omuntu oyo agobeddwa. Wadde nga okukangavvulwa kireeta obulumi, kiyinza okuleetera omuntu okubala “ekibala eky’emirembe eky’obutuukirivu.” (Beb 12:5, 6, 11) Bwe tweyongera okukolagana n’omuntu eyagobebwa mu kibiina oba eyeeyawula ku kibiina, tuba tumulemesa okuganyulwa mu kukangavvulwa Yakuwa kwe yamuwa. Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa akangavvula abantu be “ku kigero ekisaanira.” (Yer 30:11) Tusuubira nti omuntu oyo ajja kudda eri Kitaffe omusaasizi. Naye ng’ekyo tekinnabaawo, tusaanidde okuwagira enteekateeka ya Yakuwa ey’okukangavvula n’okufuba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo.—Is 1:16-18; 55:7.
MULABE VIDIYO, SIGALA NG’OLI MWESIGWA ERI YAKUWA N’OMUTIMA GWO GWONNA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Abazadde Abakristaayo bawulira batya omwana waabwe bw’ava ku Yakuwa?
-
Ab’oluganda mu kibiina bayinza batya okuyamba ab’omu maka omuli omuntu agobeddwa mu kibiina?
-
Kyakulabirako ki ekiri mu Bayibuli ekiraga nti okubeera abeesigwa eri Yakuwa kikulu nnyo okusinga okubeera abeesigwa eri ab’omu maka gaffe?
-
Tuyinza tutya okulaga nti tuli beesigwa eri Yakuwa okusinga eri ab’omu maka gaffe?