Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBY’ABALEEVI 10-11

Tulina Okwagala Yakuwa Okusinga Bwe Twagala ab’Omu Maka Gaffe

Tulina Okwagala Yakuwa Okusinga Bwe Twagala ab’Omu Maka Gaffe

10:1, 2, 4-7

Obwesigwa bwaffe eri Yakuwa buyinza okugezesebwa ennyo, singa omu ku b’omu maka gaffe agobebwa mu kibiina. Ebyo Yakuwa bye yagamba Alooni okukola nga batabani be bafudde, birina ekintu ekikulu ennyo kye bituyigiriza. Tulina okwagala Yakuwa okusinga bwe twagala omu ku b’omu maka gaffe atali mwesigwa.

Mikisa ki gye tufuna bwe tugoberera obulagirizi Yakuwa bw’atuwa obukwata ku ngeri y’okuyisaamu omuntu agobeddwa mu kibiina?​—1Ko 5:11; 2Yo 10, 11