Bannyinaffe babuulira nga bakozesa brocuwa Wuliriza Katonda mu Indonesia

OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Febwali 2016

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Bye tuyinza okwogera nga tugaba Awake! ne Wuliriza Katonda. Sinziira ku nnyanjula ezo otegeke ennyanjula zo.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Nekkemiya Yali Ayagala Nnyo Okusinza okw’Amazima

Kuba akafaananyi nga Nekkemiya akola kyonna ky’asobola okulaba nti bbugwe wa Yerusaalemi addamu okuzimbibwa, era n’engeri gye yatumbulamu okusinza okw’amazima. (Nekkemiya 1-4)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Nekkemiya Yali Mulabirizi Mulungi

Yayamba Abayisirayiri okufuna essanyu mu kusinza okw’amazima. Kuba akafaananyi ku ebyo ebyali mu Yerusaalemi mu mwezi gwa Tisiri mu 455 E.E.T. (Nekkemiya 8:1-18)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Abaweereza Ba Katonda Abeesigwa Bawagira Enteekateeka Ze

Mu kiseera kya Nekkemiya, abantu ba Yakuwa baawagira okusinza okw’amazima mu ngeri ezitali zimu. (Nekkemiya 9-11)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Obulamu Obusingayo Obulungi

Abavubuka abali mu kibiina kya Yakuwa balina enkizo nnyingi okuba n’obulamu obusingayo obulungi. Kozesa ebibuuzo okukubaganya ebirowoozo ku vidiyo.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Bye Tuyigira ku Nekkemiya

Kuba akafaananyi nga Nekkemiya alwanirira okusinga okw’amazima. (Nekkemiya 12-13)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Bonna Abali mu Kitundu Kyammwe Mubayite Babeewo ku Kijjukizo!

Ennyanjula ze tuyinza okukozesa nga tugaba obupapula obuyita abantu ku kijjukizo mu 2016. Goberera emitendera egikuweereddwa osobole okufuna abo abaagala okumanya ebisingawo.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Eseza Yalwanirira Abantu ba Katonda

Kuba akafaananyi ng’ayoleka okukkiriza ng’alwanirira abantu ba Yakuwa. (Eseza 1-5)