Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Febwali 1-7

NEKKEMIYA 1-4

Febwali 1-7
  • Oluyimba 126 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Nekkemiya Yali Ayagala Nnyo Okusinza okw’Amazima”: (Ddak. 10)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Nek 1:1; 2:1—Lwaki tuyinza okugamba nti ‘omwaka ogw’amakumi abiri’ ogwogerwako mu Nekkemiya 1:1 ne 2:1 gwali mwaka gwe gumu? (w06 2/1 28 ¶5)

    • Nek 4:17, 18—Kyasoboka kitya abantu okuzimba bbugwe nga bakozesa omukono gumu? (w06 2/1 29 ¶1)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?

    • Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?

  • Okusoma Bayibuli: Nek 3:1-14 (Ddak. 4 oba obutawera)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Tegeka Ennyanjula z’Omwezi Guno: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Musseeko vidiyo eziraga ennyanjula ze tuyinza okukozesa, era buli luvannyuma lwa buli vidiyo, mukubaganye ebirowoozo. Ggumiza obukulu bw’okulekawo kye tunaayogerako nga tuzzeeyo. Kubiriza ababuulizi okutegeka ennyanjula zaabwe.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 103

  • Weeteeketeeke Osobole Okuweereza nga Payoniya Omuwagizi mu Maaki ne Apuli: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebituukirawo ebiri mu kitundu ekirina omutwe, “Ganyulwa mu Bujjuvu mu Kiseera ky’Ekijjukizo!” (km 2/14 2) Kiggumize nti kyetaagisa okweteekateeka nga bukyali. (Nge 21:5) Buuza ebibuuzo ababuulizi babiri abaaweerezaako nga bapayoniya abawagizi. Biki bye baakola okusobola okuweereza nga bapayoniya abawagizi? Miganyulo ki gye baafuna?

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: ia sul. 8 ¶1-16 (Ddak. 30)

  • Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)

  • Oluyimba 135 n’Okusaba