Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Febwali 15-21

NEKKEMIYA 9-11

Febwali 15-21
  • Oluyimba 84 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Abaweereza ba Katonda Abeesigwa Bawagira Enteekateeka Ze”: (Ddak. 10)

    • Nek 10:28-30—Bakkiriziganya obutafumbiriganwa na bantu b’amawanga agaali gabeetoolodde (w98-E 10/15 21 ¶11)

    • Nek 10:32-39—Baamalirira okuwagira okusinza okw’amazima mu ngeri ezitali zimu (w98-E 10/15 21 ¶11-12)

    • Nek 11:1, 2—Baawagira enteekateeka ey’enjawulo eyali eteekeddwawo (w06 2/1 31 ¶6; w98-E 10/15 22 ¶13)

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Nek 9:19-21—Yakuwa akiraze atya nti alabirira bulungi abantu be? (w13 9/15 9 ¶9-10)

    • Nek 9:6-38—Bwe kituuka ku kusaba, kiki kye tuyigira ku Baleevi? (w13 10/15 22-23 ¶6-7)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?

    • Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?

  • Okusoma Bayibuli: Nek 11:15-36 (Ddak. 4 oba obutawera)

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi agaba Awake! ng’akozesa ekitundu “Amagezi Agayamba Amaka—Engeri gy’Oyinza Okuba n’Emikwano Egya Nnamaddala.” Alekawo kye banaayogerako ng’azzeeyo.

  • Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi azzeeyo eri omuntu gwe yawa Awake! eya Febwali. Alekawo kye banaayogerako ng’azzeeyo.

  • Ng’Otandise Okuyigiriza Omuntu: (Ddak. 6 oba obutawera) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi atandise okuyigiriza omuntu Bayibuli. Akozesa (bh 32-33 ¶13-14)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 19

  • Obulamu Obusingayo Obulungi”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Musseeko vidiyo erina omutwe, “The Best Life Ever” (Obulamu Obusingayo Obulungi). Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo. Mu bufunze, buuza ebibuuzo omubuulizi, ali obwa nnamunigina oba omufumbo, eyakozesa obulungi emyaka gye egy’obwannamunigina okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. (1Ko 7:35) Birungi ki bye yafuna?

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: ia sul. 9 ¶1-13 (Ddak. 30)

  • Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)

  • Oluyimba 76 n’Okusaba