Febwali 22- 28
NEKKEMIYA 12-13
Oluyimba 106 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Bye Tuyigira ku Nekkemiya”: (Ddak. 10)
Nek 13:4-9
—Weewale emikwano emibi (w13 8/15 4 ¶5-8) Nek 13:15-21
—Kulembeza ebintu eby’omwoyo (w13 8/15 5-6 ¶13-15) Nek 13:23-27
—Nywerera ku mitindo gy’Ekikristaayo (w13 8/15 6-7 ¶16-18)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Nek 12:31
—Lwaki abayimbi baategekebwanga mu bibinja bibiri? (it-2 454 ¶1) Nek 13:31b
—Kiki Nekkemiya kye yali asaba Yakuwa amukolere? (w11 2/1 14 ¶3-5) Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?
Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?
Okusoma Bayibuli: Nek 12:1-26 (Ddak. 4 oba obutawera)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi agabira omuntu atasiimye nnyo bubaka bwaffe akapapula akayita abantu ku Kijjukizo.
Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4 oba obutawera) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi agabira omuntu asiimye obubaka bwaffe akapapula akayita abantu ku Kijjukizo ne Omunaala gw’Omukuumi. Alekawo kye banaayogerako ng’azzeeyo.
Ng’Otandise Okuyigiriza Omuntu: (Ddak. 6 oba obutawera) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi annyonnyola omuyizi wa Bayibuli ebikwata ku Kijjukizo. Akozesa Baibuli Ky’Eyigiriza, olupapula 206-208. Omubuulizi asuubiza okubaako ky’ayamba omuyizi asobole okubaawo ku kijjukizo.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Oluyimba 5
“Bonna Abali mu Kitundu Kyammwe Mubayite Babeewo ku Kijjukizo!”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Nnyonnyola enteekateeka ezikoleddwa mu kibiina kyammwe okusobola okumalako ekitundu kye mubuuliramu. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku “Eby’Okulowoozaako,” musseeko vidiyo ekwata ku Kijjukizo. Kubiriza bonna okwenyigira mu bujjuvu mu kaweefube ono n’okuddira abo abanaaba basiimye obubaka bwaffe. Laba ekyokulabirako.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: ia sul. 9 ¶14-24, eby’okulowoozaako ku lup. 82 (Ddak. 30)
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 147 n’Okusaba