Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Bonna Abali mu Kitundu Kyammwe Mubayite Babeewo ku Kijjukizo!

Bonna Abali mu Kitundu Kyammwe Mubayite Babeewo ku Kijjukizo!

Kaweefube ow’okuyita abantu ku Kijjukizo ajja kutandika nga Febwali 27, era tujja kuyita abantu bangi nga bwe kisoboka okubeerawo ku mukolo guno. Ate era tujja kufuba okuddira abo abanaaba baagala okumanya ebisingawo.

EBY’OKULOWOOZAAKO

ENNYANJULA

“Tuli mu kaweefube ow’okuyita abantu ku mukolo omukulu ennyo. Nga Maaki 23, abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi yonna bajja okujjukira okufa kwa Yesu Kristo era bajja kuwuliriza okwogera okulaga engeri okufa kwe gye kutuganyulamu. Akapapula kano kalaga ebiseera n’ekifo omukolo guno we gunaabeera. Naawe oyanirizibwa.”

Omuntu bw’aba asiimye . . .

  • MUWE OMUNAALA GW’OMUKUUMI

    Lekawo kye munaayogerako ng’ozzeeyo.

  • MULAGE VIDIYO EKWATA KU KIJJUKIZO

    Lekawo kye munaayogerako ng’ozzeeyo.

Ng’ozzeeyo, oyinza . . .

  • OKUMULAGA VIDIYO, LWAKI KIKULU OKUYIGA BAYIBULI?

    Oluvannyuma n’omuwa ekimu ku bitabo bye tukozesa nga tuyigiriza.

  • OKUMUWA AKATABO KIKI DDALA BAIBULI KY’EYIGIRIZA?

    N’omulaga ebisingawo ebikwata ku mukolo gw’Ekijjukizo ebiri ku lupapula 206-208.

  • OKUMUWA BROCUWA WULIRIZA KATONDA

    Ne mukubaganya ebirowoozo ku ebyo ebiri ku lupapula 18-19, ebiraga emiganyulo gye tufuna mu kufa kwa Yesu.