Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Febwali 29–Maaki 6

ESEZA 1-5

Febwali 29–Maaki 6
  • Oluyimba 86 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi agaba brocuwa Wuliriza Katonda. Alekawo kye banaayogerako ng’azzeeyo.

  • Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi azzeeyo eri omuntu gwe yalekera brocuwa Wuliriza Katonda. Akozesa ebyo ebiri ku lupapula 2-3. Alekawo kye banaayogerako ng’azzeeyo.

  • Ng’Otandise Okuyigiriza Omuntu: (Ddak. 6 oba obutawera) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi atandise okuyigiriza omuntu gye yawa brocuwa Wuliriza Katonda. Akozesa ebyo ebiri ku lupapula 4-5 mu katabo Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna. (km 7/12 2-3 ¶4)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 71

  • Ebyetaago by’ekibiina: (Ddak. 10)

  • Oganyuddwa Otya mu Nteekateeka Empya ey’Enkuŋŋaana?: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye baganyuddwa mu nteekateeka empya ey’enkuŋŋaana za wakati mu wiiki. Kubiriza bonna okutegekanga obulungi basobole okuganyulwa mu bujjuvu.

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: ia sul. 10 ¶1-11, akas. ku lup. 86 (Ddak. 30)

  • Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)

  • Oluyimba 149 n’Okusaba