Febwali 8- 14
NEKKEMIYA 5-8
Oluyimba 123 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Nekkemiya Yali Mulabirizi Mulungi”: (Ddak. 10)
Nek 5:1-7
—Nekkemiya yawuliriza okwemulugunya kw’abantu era n’abaako ky’akolawo (w06 2/1 29 ¶2) Nek 5:14-19
—Nekkemiya yali muwombeefu, nga teyeefaako yekka, era yakwatanga ensonga mu ngeri ey’amagezi (w06 2/1 30 ¶4) Nek 8:8-12
—Nekkemiya yeenyigira mu kuyigiriza abantu Amateeka (w06 2/1 31 ¶4)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Nek 6:5
—Lwaki Sanubalaati yaweereza Nekkemiya “ebbaluwa etaali nsibe”? (w06 2/1 29 ¶3) Nek 6:10-13—Lwaki Nekkemiya teyakkiriza ekyo Semaaya kye yamugamba (w07 7/1 31 ¶15)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?
Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?
Okusoma Bayibuli: Nek 6:14–7:7a (Ddak. 4 oba obutawera)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi agaba magazini ya Awake! empya ng’akozesa omutwe oguli kungulu. Alekawo kye banaayogerako ng’azzeeyo.
Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi azzeeyo eri omuntu eyalaga nti ayagala okumanya ebisingawo ebikwata ku mutwe ogwali kungulu ku Awake! Alekawo kye banaayogerako ng’azzeeyo.
Ng’Otandise Okuyigiriza Omuntu: (Ddak. 6 oba obutawera) Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi atandise okuyigiriza omuntu Bayibuli. Akozesa (bh 28-29 ¶4-5)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Oluyimba 62
Oluubirira Enkizo mu Kibiina?: (Ddak. 15) Kwogera nga kwa kuweebwa mukadde, nga kwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi ogwa Sebutemba 15, 2014, olupapula 3-6. Musseeko vidiyo erina omutwe, Ab’oluganda, Muluubirire Okuweereza Abalala! eyafulumira mu programu ya Ddesemba 2015, eya JW Broadcasting. Nnyonnyola ensonga lwaki kikulu okuluubirira enkizo, era n’engeri ow’oluganda gy’ayinza okukikolamu. Kubiriza ab’oluganda okutuukiriza ebisaanyizo basobole okuweereza ng’abaweereza oba abakadde.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: ia sul. 8 ¶17-27, eby’okulowoozaako ku lup.75 (Ddak. 30)
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 125 n’Okusaba